Amazina agamalako omwaka gaabaddemu ebirumira

Shaggy ng’asikayo akazindaalo

Bya Ssemugenyi
Nyanzi ne H.
Nkalubo

EBBINU lyasusse ng’omwaka guggwako n’abagwenyufu ne bakyekola.

Ekisaawe ky’e Nakivubo ky’ekimu ku bifo abagwenyufu gye baasinze okukyekola ng’abamu baatuuse n’okusinda omukwano nga n’abali mu kivvulu kino babalaba.

Abayi-mbi okwab-adde Irene Namatovu, Emperor Orlando, Catherine Kusaasira n’abalala basoose kusindogomya ndongo, olwo abalabi abaabadde batandise okutamiira ne basala endongo.

Abasajja abamu abasiiwuufu b’empisa batandise okwebagajja abakazi nga babatwala emmanju w’ekisaawe, ne babaganzika ku muddo mu kizikiza era Bukedde yagenze okwesazaayo yasanze ekiri eyo kisa kinegula ne beekola ekigenyin ga kyawalirizza n’abaserikale ba LDU ne poliisi okuyingirawo okukkakkanya effujjo eryabadde lisusse ne babalippulula.

Omuyimbi Shaggy yalalusizza abakazi abazze mu kivvulu kye ne bakuba enduulu n’ekifo ne kiwuuma. Abakazi okulaluka kyavudde ku Shaggy okubawaana nga bwe bamanyi okusinda omukwano era n’abakunga badduke ku basajja ababayisa obubi baddukire gy’ali ababudeebude.

‘’ Abakazi mwenna abali wano nga mulina abasajja ababayisa obubi mubaveeko mujje gyendi kubanga ndi wa busa ate ng’omukwano ngutegeera bulungi.’’ bwatyo Shaggy eyeewaana nga bw’alimu sukaali w’abakyala bwe yagambye ku ntujjo ye ey’okumalako omwaka eyabadde e Munyonyo ewa naggagga Sudhir Ruparelia.

Abamu ku bakazi baabadde ng’abatembeddwa ekitambo ky’omukwano mu kiseera kino ne batandika okuleekaanira waggulu nga bwe bawaana omuyimbi ono eyavudde mu Amerika nga bagamba nti , “Wamma Shaggy obeewo kubanga naffe tukulabye omalako.”

Abamu ku bawala abaabadde bazze ne baganzi baabwe baabalese mu ntebe mwe baabadde batudde ne baddukira ku siteegi Shaggy gye yabadde abayise era n’omwaka omuggya ogwa 2004 abamu baaguyingidde baganzi baabwe babeerabidde ng’ebirowoozo bibali ku Shaggy.

Shaggy yatandise okuyimba ku ssaawa 4.20 ez’ekiro . Yazze mpola ku siteegi ng’asooba nga nnawolovu nga bw’asuuliza amagulu mu bbanga n’okunuula ensingo ng’akirako ssekanyolya aliko emmese gy’asooberera n’oluvannyuma ng’atuuse ku siteegi wakati yeekutte mu mbugo n’asikambulayo akazindaalo ke yabadde asonseseeyo n’atandika okulya mu ndago, olwo abantu ne bakuba enduulu olw’essanyu.

Yatandikidde ku kuwaana bakazi ba mu Uganda n’okwongera okweyogerako nga bw’alimu sukaali w’abakyala.

Wabula oluvannyuma n’abasajja Shaggy yabakubagizzaayo akalabo k’omwaka omupya bwe yabawadde amagezi ku ngeri gye balina okunyweza emikwano.

“Tewali kyofiirwa okufukamira ku maviivi go ne weetondera ekyana kyo ng’obadde okisobezza ku lw’obulungi bw’omukwano gwammwe,” bwatyo Shaggy bwe yabuuliridde abasajja n’ayongerako nti abantu b’omu Uganda abaagadde nnyo era ajja kuddanga mu biseera ebijja Olusooka Omwaka alukwatirenga wano.

Published on: Friday, 2nd January, 2004


Shaggy Now.com ~*~ When You Want Shaggy & Crew Now! ~*~ Articles catalogue
2002 2003

shaggynow.com v 4_2